Engero za ffe
From WikiEducator
Engero(Proverbs)
(: Engero z'abaganda ziberamu ebitundu bibiri:-
- Ekyogerwa awa olugero
- Ekidibwaamu awulira
Wano ebitundu byombi byawudwa no obutonyeze(dots))
- Sebuwoomi bwanswa....natalya mutima agulira omwo.
- Amakulu: Omuntu bwalya enswa,yonna agirya nebigilimu byonna. Ekitegeza nti abantu tebasibaamu kukintu e kilungi.
- Agamyuka omutezi...nakasolo.
- Amakulu:
- Ezivaamu omukulu....... zangaala
- Amakulu:
- Sekikubo kitutte ente.....kyekitwala n'omulaalo
- Amakulu:
- Waruggyo........... akalanga bya banne
- Amakulu:
- Lunayabira Emmanga........... nga yesinga oluganda
- Amakulu:Omuntu yesiga banamuyamba
- Abalamu magoma......gavugira aliwo.
- Amakulu:
- Obuyisi bwoomu.......nsega yebika.
- Amakulu: Bwotambula wekka oyinza okugwaako obuzibu ngatewali amanyi.
- Sebugenyi bwa nsanafu.......gwezizinda teyebaka.
- Amakulu:
- Ogubula eyeguya.......tegukala.
- Amakulu:
- Awaba ebbanja.......tewebwa bbanja.
- Amakulu:
- Enkumbi okubula.......ewa munafu mpoza.
- Amakulu:
- Omukwano masavu.......ogalya gakyayokya.
- Amakulu:
- Ettooke............ oliwanirira likyaali kumugogo
- Amakulu:
- Gunsinze........aliwa bitono
- Amakulu:
- Okulya ennyingi.....sikuggwa maddu.
- Makulu:
- Ekikuwa obulema........kyekikuwa n'amagezi
- Amakulu:
- Ebigambo byakuno bingi........nga nanyinimu y'asuza ababbi
- Amakulu:
- Omukisa nkukunyi........tegutulirwa
- Amakulu:Enkukunyi nebwogitulaako tefa. Nolwekyo olugero lutegeeza
nti omukisa gwo muntu teguzibirwa.
- Kifundikwa kirinsabira........talya bwami
- Amakulu:
- Ennyonyi eteyise........ekolera makaayi
- Amakulu:
- Nditwaala kinene........afa tatuuse ku buko
- Amakulu:
- Ekiri ewala........mpendo(mpenduzo) yekigyayo.
- Amakulu:
- Empeera........tekwata magulu.
- Amakulu:
- Engabo enzira........ogirabira ku biwundu.
- Amakulu:
- Awafiira omuzira........tewaba nsitaano.
- Amakulu:
- Atya omusana........talya bwami.
- Amakulu:Edda nga obwami babugabira bweru nga ate wabaayo omusana munji.
- Alina nyina omuto........tabulwa kitaawe.
- Amakulu:
- "Siwemuke"........yaafa n'omwami.
- Amakulu:
- "Oluyitayita"........lusinga oluliira ku nkoligo.
- Amakulu:
- "Ayinayina omulogo"........yamwokesa amaduudu.
- Amakulu:
- "Ani alimumpeera "........awa wa kibungu.
- Amakulu:Owekibungu we mwaana atanamera mmannyo
- "Analemwa ebbuzi okutuga "........Nti lintunulidde.
- Amakulu:
- "Sematiko agajilwa omuwuulu "........mufumbo yagagaba .
- Amakulu:
- "Gwoliyunjila "........yakuyita nakyambe .
- Amakulu:
- "Akukuba omuggo omunene "........akutenda nkaaba mbi .
- Amakulu:
- "Banange bangi "........nga tonagwa mu kibi .
- Amakulu:
- "Nviiri mbi "........zikira ekiwalaata .
- Amakulu:
- "Sebuguzi bwa nnume "........tebubulako nteera .
- Amakulu:
- "Awagwa ekku "........tewabula bulondelerwa .
- Amakulu:
- " Sebayita mbwa"........ng'omuggo gumuli mu ngalo .
- Amakulu:
- " Abalirila ezigula e nkumbi"........tawa munne ssooli ddene .
- Amakulu:
- " Tunalyaamu eyidde"........nga elumye mukazi .
- Amakulu:
- "Ebbikilizi "........si kigwo .
- Amakulu:
- "Atali nanyini mbooli "........asima ayikuula .
- Amakulu:
- "Sebagobaganya musibe "........naye entuuyo asala .
- Amakulu:
- "Guweddeko entotto "........enyonyi zuguyita ttale .
- Amakulu:
- "Sentamu nkadde "........tojazika munno .
- Amakulu:
- "Selulume lubi "........luwasa mulugo lwalwo/oba lwonoona mu lugo lwalwo.
- Amakulu:
- "Kiyita waggulu "........otega wansi.
- Amakulu:
- "Oli wamugoonya "........bwotta enkoko ofumba kasooli .
- Amakulu:
- "Enkeletanyi..... "........bwogitega amenvu elya bibombo .
- Amakulu:
- "Awayira omufu "........yeteesa .
- Amakulu:
- "Akutwaala entwe"........taba wawala .
- Amakulu:
- "Sebakisa bulwadde "........enkooko zimwatula .
- Amakulu:
- "Ensawo yamugandawo "........tekutelekera .
- Amakulu:
- "Omuto wattira eggege"........wateeka omuya .
- Amakulu:
- "Weyazeyaze"........akkubya wosula .
- Amakulu:
- "Atanagula"........tayisa mutala .
- Amakulu:
- "Nyanja eladde"........tebuamu mayengo .
- Amakulu:
- "Bwokyaawa gwoyita naye"........weyongela nnaku .
- Amakulu:
- "Elikuba waliiso"........yaletela wanyindo okufeesa .
- Amakulu:
- "Abakama empisi"........banyikira .
- Amakulu:
- "Kiri mulaala"........yaleka engabo .
- Amakulu:
- "Engombo ekwaata omukulu"........teleka muganzi .
- Amakulu:
- "Mugenyi alwa"........yasamba omwenge .
- Amakulu:
- "mbiro ntono"........zikira okwekweka .
- Amakulu:
- "Enkuba bwetonya"........nebinamunye binaaba mu bitaba .
- Amakulu:
- "Mazzi masabe"........tegamala nyonta .
- Amakulu:
- "Kassugga "........kagoba bisambu .
- Amakulu:
- "mpiima teseera"........mwoyo gweguseera .
- Amakulu:
- "Akuwaniriza okulinya"........bwogwa akuyita kadduwanema .
- Amakulu:
- "anyumiriza eggunju"........aliliisa omwami .
- Amakulu:
- "Nawano lulyabirawo"........nga lwamwaavu .
- Amakulu:
- "Asugumbira okulaba ensolo"........gweerya .
- Amakulu:
- "Sebusiru bwa njoka"........otta nanyini lubuto nti gwe onowonela wa?
- Amakulu:
- "Akamwa akangu"........kakuyitabya akubanja
- Amakulu:
- "Owentono"........alunda zize
- Amakulu:
- "Eyesiga"........yakunama
- Amakulu:
- "Wambwa aludde"........nga nebigobero
- Amakulu:
- "Entubiro etekutuge"........tekukwasa ku nkanaga
- Amakulu:
- "Owakamwaake"........yakagelela ennoga
- Amakulu:
- "Olwookya enyumba"........lulaga namunye ekkubo
- Amakulu:
- "Wakasanke"........afuyilira bayomba
- Amakulu:
- "Mami ankyaaye"........nga empagi aleeta nkyaamu
- Amakulu:
- "Omuyala"........tomubulila gyegengela
- Amakulu:
- "Kasenyaanku"........zasomba zezimwokya
- Amakulu:
- "Omukono ogensonyi"........tegukkusa baagwo
- Amakulu:
- "Naalya bibiri"........yayomya enyama
- Amakulu:
- "Akateyanira"........kekafa omutego
- Amakulu:
- "Enkuba elitonya ddi"........bwetonya emutonya mu kamwa
- Amakulu:
- "Eyesiga"........yakunama
- Amakulu:
- "Attole amanene"........teganyiga mwana
- Amakulu:
- "Basammula ekkere"........nga ammazzi banywa
- Amakulu:
- "Entamu eyatikira omugoyo"........teyombya
- Amakulu:
- "Lugolugenyi"........telumanya mbuzi mponge
- Amakulu:
- "Omutunzi"........teyeganya kusumulula
- Amakulu:
- "Zansanze akira"........malagadaaga
- Amakulu:
- "Ekyetimbwa"........kikira ekyebikwa
- Amakulu:
- "Nalinkilabye"........evakumumwa gwensawo
- Amakulu:
- "Sewaali nte"........olabira ku kalandalugo
- Amakulu:
- "Sebwavu bwaali bwadda"........yejeleza munyago
- Amakulu:
- "Asooka okufuna"........yelabira banne byebalifuna
- Amakulu:
- "Enkuba bwetonya"........nebinamunye binaaba mubitaba
- Amakulu:
- "Balubuliza mbazzi"........luli ku muddo lulya
- Amakulu:
- "Nantakiika"........nti ebyembuga biliibwa muganzi
- Amakulu:
- "Enge ensasulanye"........terima kyalo
- Amakulu:
- "Omukwano gwa bato"........gufa nseko
- Amakulu:
- "Amamese amangi"...tegesimila bunya ngatewali njangwa(omukulembeze)
- Amakulu:
- "Sebwavu bwaali bwadda"........yejeleza munyago
- Amakulu:
- "Enyonjo entono....ekyamya enkoko ekyensuti
- Amakulu:
- "*Akuwaniriza okulinya...bwogwa akuyita kadduwanema
- Amakulu:
- "*awagenda ekkovvu...nesonko
- Amakulu:
- Mufu Mujja..... tamanya bili magombe
- Amakulu:
- Namasava owolumu..... takusuuza ntula(oba lunnyo)
- Amakulu:
- Wambwa aludde..... nga nebigobero
- Amakulu:
- Kibojjera ku lwazi..... kyesiga mumwa bugumu
- Amakulu:
- Kamwezi..... bamuleka mbale
- Amakulu:Bwotokola kint mu kiseera kyakyo.....
- Nawalubwa..... nebwelubalwa kigando asanga lwaniko
Amakulu:Owomukisa omubi nebwekiba nto abalala bibagendedde bulungi,sibwekiba ku yye