Engero za ffe

From WikiEducator
Jump to: navigation, search



Engero(Proverbs)

(Comment.gif: Engero z'abaganda ziberamu ebitundu bibiri:-

  1. Ekyogerwa awa olugero
  2. Ekidibwaamu awulira

Wano ebitundu byombi byawudwa no obutonyeze(dots))

  • Sebuwoomi bwanswa....natalya mutima agulira omwo.
    • Amakulu: Omuntu bwalya enswa,yonna agirya nebigilimu byonna. Ekitegeza nti abantu tebasibaamu kukintu e kilungi.
  • Agamyuka omutezi...nakasolo.
    • Amakulu:
  • Ezivaamu omukulu....... zangaala
    • Amakulu:
  • Sekikubo kitutte ente.....kyekitwala n'omulaalo
    • Amakulu:
  • Waruggyo........... akalanga bya banne
    • Amakulu:
  • Lunayabira Emmanga........... nga yesinga oluganda
    • Amakulu:Omuntu yesiga banamuyamba
  • Abalamu magoma......gavugira aliwo.
    • Amakulu:
  • Obuyisi bwoomu.......nsega yebika.
    • Amakulu: Bwotambula wekka oyinza okugwaako obuzibu ngatewali amanyi.
  • Sebugenyi bwa nsanafu.......gwezizinda teyebaka.
    • Amakulu:
  • Ogubula eyeguya.......tegukala.
    • Amakulu:
  • Awaba ebbanja.......tewebwa bbanja.
    • Amakulu:
  • Enkumbi okubula.......ewa munafu mpoza.
    • Amakulu:
  • Omukwano masavu.......ogalya gakyayokya.
    • Amakulu:
  • Ettooke............ oliwanirira likyaali kumugogo
    • Amakulu:
  • Gunsinze........aliwa bitono
    • Amakulu:
  • Okulya ennyingi.....sikuggwa maddu.
    • Makulu:
  • Ekikuwa obulema........kyekikuwa n'amagezi
    • Amakulu:
  • Ebigambo byakuno bingi........nga nanyinimu y'asuza ababbi
    • Amakulu:
  • Omukisa nkukunyi........tegutulirwa
    • Amakulu:Enkukunyi nebwogitulaako tefa. Nolwekyo olugero lutegeeza

nti omukisa gwo muntu teguzibirwa.

  • Kifundikwa kirinsabira........talya bwami
    • Amakulu:
  • Ennyonyi eteyise........ekolera makaayi
    • Amakulu:
  • Nditwaala kinene........afa tatuuse ku buko
    • Amakulu:
  • Ekiri ewala........mpendo(mpenduzo) yekigyayo.
    • Amakulu:
  • Empeera........tekwata magulu.
    • Amakulu:
  • Engabo enzira........ogirabira ku biwundu.
    • Amakulu:
  • Awafiira omuzira........tewaba nsitaano.
    • Amakulu:
  • Atya omusana........talya bwami.
    • Amakulu:Edda nga obwami babugabira bweru nga ate wabaayo omusana munji.
  • Alina nyina omuto........tabulwa kitaawe.
    • Amakulu:
  • "Siwemuke"........yaafa n'omwami.
    • Amakulu:
  • "Oluyitayita"........lusinga oluliira ku nkoligo.
    • Amakulu:
  • "Ayinayina omulogo"........yamwokesa amaduudu.
    • Amakulu:
  • "Ani alimumpeera "........awa wa kibungu.
    • Amakulu:Owekibungu we mwaana atanamera mmannyo
  • "Analemwa ebbuzi okutuga "........Nti lintunulidde.
    • Amakulu:
  • "Sematiko agajilwa omuwuulu "........mufumbo yagagaba .
    • Amakulu:
  • "Gwoliyunjila "........yakuyita nakyambe .
    • Amakulu:
  • "Akukuba omuggo omunene "........akutenda nkaaba mbi .
    • Amakulu:
  • "Banange bangi "........nga tonagwa mu kibi .
    • Amakulu:
  • "Nviiri mbi "........zikira ekiwalaata .
    • Amakulu:
  • "Sebuguzi bwa nnume "........tebubulako nteera .
    • Amakulu:
  • "Awagwa ekku "........tewabula bulondelerwa .
    • Amakulu:
  • " Sebayita mbwa"........ng'omuggo gumuli mu ngalo .
    • Amakulu:
  • " Abalirila ezigula e nkumbi"........tawa munne ssooli ddene .
    • Amakulu:
  • " Tunalyaamu eyidde"........nga elumye mukazi .
    • Amakulu:
  • "Ebbikilizi "........si kigwo .
    • Amakulu:
  • "Atali nanyini mbooli "........asima ayikuula .
    • Amakulu:
  • "Sebagobaganya musibe "........naye entuuyo asala .
    • Amakulu:
  • "Guweddeko entotto "........enyonyi zuguyita ttale .
    • Amakulu:
  • "Sentamu nkadde "........tojazika munno .
    • Amakulu:
  • "Selulume lubi "........luwasa mulugo lwalwo/oba lwonoona mu lugo lwalwo.
    • Amakulu:
  • "Kiyita waggulu "........otega wansi.
    • Amakulu:
  • "Oli wamugoonya "........bwotta enkoko ofumba kasooli .
    • Amakulu:
  • "Enkeletanyi..... "........bwogitega amenvu elya bibombo .
    • Amakulu:
  • "Awayira omufu "........yeteesa .
    • Amakulu:
  • "Akutwaala entwe"........taba wawala .
    • Amakulu:
  • "Sebakisa bulwadde "........enkooko zimwatula .
    • Amakulu:
  • "Ensawo yamugandawo "........tekutelekera .
    • Amakulu:
  • "Omuto wattira eggege"........wateeka omuya .
    • Amakulu:
  • "Weyazeyaze"........akkubya wosula .
    • Amakulu:
  • "Atanagula"........tayisa mutala .
    • Amakulu:
  • "Nyanja eladde"........tebuamu mayengo .
    • Amakulu:
  • "Bwokyaawa gwoyita naye"........weyongela nnaku .
    • Amakulu:
  • "Elikuba waliiso"........yaletela wanyindo okufeesa .
    • Amakulu:
  • "Abakama empisi"........banyikira .
    • Amakulu:
  • "Kiri mulaala"........yaleka engabo .
    • Amakulu:
  • "Engombo ekwaata omukulu"........teleka muganzi .
    • Amakulu:
  • "Mugenyi alwa"........yasamba omwenge .
    • Amakulu:
  • "mbiro ntono"........zikira okwekweka .
    • Amakulu:
  • "Enkuba bwetonya"........nebinamunye binaaba mu bitaba .
    • Amakulu:
  • "Mazzi masabe"........tegamala nyonta .
    • Amakulu:
  • "Kassugga "........kagoba bisambu .
    • Amakulu:
  • "mpiima teseera"........mwoyo gweguseera .
    • Amakulu:
  • "Akuwaniriza okulinya"........bwogwa akuyita kadduwanema .
    • Amakulu:
  • "anyumiriza eggunju"........aliliisa omwami .
    • Amakulu:
  • "Nawano lulyabirawo"........nga lwamwaavu .
    • Amakulu:
  • "Asugumbira okulaba ensolo"........gweerya .
    • Amakulu:
  • "Sebusiru bwa njoka"........otta nanyini lubuto nti gwe onowonela wa?
    • Amakulu:
  • "Akamwa akangu"........kakuyitabya akubanja
    • Amakulu:
  • "Owentono"........alunda zize
    • Amakulu:
  • "Eyesiga"........yakunama
    • Amakulu:
  • "Wambwa aludde"........nga nebigobero
    • Amakulu:
  • "Entubiro etekutuge"........tekukwasa ku nkanaga
    • Amakulu:
  • "Owakamwaake"........yakagelela ennoga
    • Amakulu:
  • "Olwookya enyumba"........lulaga namunye ekkubo
    • Amakulu:
  • "Wakasanke"........afuyilira bayomba
    • Amakulu:
  • "Mami ankyaaye"........nga empagi aleeta nkyaamu
    • Amakulu:
  • "Omuyala"........tomubulila gyegengela
    • Amakulu:
  • "Kasenyaanku"........zasomba zezimwokya
    • Amakulu:
  • "Omukono ogensonyi"........tegukkusa baagwo
    • Amakulu:
  • "Naalya bibiri"........yayomya enyama
    • Amakulu:
  • "Akateyanira"........kekafa omutego
    • Amakulu:
  • "Enkuba elitonya ddi"........bwetonya emutonya mu kamwa
    • Amakulu:
  • "Eyesiga"........yakunama
    • Amakulu:
  • "Attole amanene"........teganyiga mwana
    • Amakulu:
  • "Basammula ekkere"........nga ammazzi banywa
    • Amakulu:
  • "Entamu eyatikira omugoyo"........teyombya
    • Amakulu:
  • "Lugolugenyi"........telumanya mbuzi mponge
    • Amakulu:
  • "Omutunzi"........teyeganya kusumulula
    • Amakulu:
  • "Zansanze akira"........malagadaaga
    • Amakulu:
  • "Ekyetimbwa"........kikira ekyebikwa
    • Amakulu:
  • "Nalinkilabye"........evakumumwa gwensawo
    • Amakulu:
  • "Sewaali nte"........olabira ku kalandalugo
    • Amakulu:
  • "Sebwavu bwaali bwadda"........yejeleza munyago
    • Amakulu:
  • "Asooka okufuna"........yelabira banne byebalifuna
    • Amakulu:
  • "Enkuba bwetonya"........nebinamunye binaaba mubitaba
    • Amakulu:
  • "Balubuliza mbazzi"........luli ku muddo lulya
    • Amakulu:
  • "Nantakiika"........nti ebyembuga biliibwa muganzi
    • Amakulu:
  • "Enge ensasulanye"........terima kyalo
    • Amakulu:
  • "Omukwano gwa bato"........gufa nseko
    • Amakulu:
  • "Amamese amangi"...tegesimila bunya ngatewali njangwa(omukulembeze)
    • Amakulu:
  • "Sebwavu bwaali bwadda"........yejeleza munyago
    • Amakulu:
  • "Enyonjo entono....ekyamya enkoko ekyensuti
    • Amakulu:
  • "*Akuwaniriza okulinya...bwogwa akuyita kadduwanema
    • Amakulu:
  • "*awagenda ekkovvu...nesonko
    • Amakulu:
  • Mufu Mujja..... tamanya bili magombe
    • Amakulu:
  • Namasava owolumu..... takusuuza ntula(oba lunnyo)
    • Amakulu:
  • Wambwa aludde..... nga nebigobero
    • Amakulu:
  • Kibojjera ku lwazi..... kyesiga mumwa bugumu
    • Amakulu:
  • Kamwezi..... bamuleka mbale
    • Amakulu:Bwotokola kint mu kiseera kyakyo.....
  • Nawalubwa..... nebwelubalwa kigando asanga lwaniko

Amakulu:Owomukisa omubi nebwekiba nto abalala bibagendedde bulungi,sibwekiba ku yye